Nehemiah 8

1 aabantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri. 2 bKu lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu, Ezera kabona n’aleeta Ekitabo ky’Amateeka mu maaso g’ekibiina ekyalimu abasajja n’abakazi n’abalala abaali basobola okutegeera. 3 cN’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.

4 dEzera omuwandiisi n’ayimirira ku kituuti eky’embaawo kye baazimbira omukolo ogwo. Mattisiya, ne Sema, ne Anaya, ne Uliya, ne Kirukiya ne Maaseya be baamuliraana ku mukono gwe ogwa ddyo, ate Pedaya, ne Misayeri, ne Malukiya, ne Kasimu, ne Kasubaddana, ne Zekkaliya ne Mesullamu be baamuliraana ku mukono gwe ogwa kkono.

5 eAwo Ezera n’abikkula ekitabo, abantu bonna nga bamutunuulidde kubanga ekifo we yali ayimiridde kyali waggulu w’abantu bonna, era bwe yali ng’ayanjuluza ekitabo, abantu bonna ne bayimirira. 6 fEzera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.

7 gYesuwa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akkubu, ne Sabbesayi, ne Kodiya, ne Masseya, ne Kerita, ne Azaliya, ne Yozabadi, ne Kanani ne Peraya, Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka, abantu nga bayimiridde mu bifo byabwe. 8Ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.

9 hNaye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”

10 iNekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”

11Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna, nga boogera nti, “Mubeere bakkakkamu kubanga leero lunaku lutukuvu. Temunakuwala.”

12 jOluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu g’ebigambo ebyabategeezebwa.

13Ku lunaku olwokubiri olw’omwezi ogwo, abakulu b’ennyumba awamu ne bakabona n’Abaleevi, ne bakuŋŋaanira eri Ezera omuwandiisi okusoma n’okutegeera ebigambo by’Amateeka. 14Ne basanga mu byawandiikibwa mu Mateeka, Mukama ge yalagira Musa, nga Abayisirayiri baali bateekwa okusulanga mu weema mu biseera eby’embaga ey’omwezi ogw’omusanvu, 15era nga kibagwanidde okubunyisa amawulire ago n’okulangirira mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi, nga boogera nti, “Mugende mu nsozi mukuŋŋaanye amatabi ag’emizeeyituuni n’ago ag’emizeeyituuni egy’omu nsiko, n’ag’emikadasi,
Emikadasi biti bimpi ebirina akaloosa akalungi.
n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala egirina ebikoola ebingi okuzimba weema nga bwe kyawandiikibwa.”

16 lAwo abantu ne bagenda ne bagaleeta ne beezimbira weema, abamu ku busolya bwabwe, ne mu mpya zaabwe, ne mu luggya lw’ennyumba ya Katonda, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gw’Amazzi, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwa Efulayimu. 17 mAwo ekibiina kyonna ekyakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne beezimbira weema ne babeera omwo; kubanga okuva mu biro bya Yesuwa
Yesuwa ye Yoswa mutabani wa Nuuni
mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku olwo, Abayisirayiri baali tebakwatanga kiseera ekyo bwe batyo. Ne basanyuka nnyo nnyini.

18 oBuli lunaku, Ezera n’asomanga mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda okuva ku lunaku olwasooka okutuusa ku lunaku olwasembayo. Ne bakwata embaga okumala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana, ne bakola olukuŋŋaana, ng’ekiragiro bwe kiri.

Copyright information for LugEEEE